Isaiah 49:8-21

Isirayiri Azzibwawo

8 aBw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ndikwanukula mu biro mwe ndisiimira,
ku lunaku olw’obulokozi ndikuyamba.
Ndikukuuma ne nkufuula endagaano eri abantu,
muliddayo ku ttaka lyammwe ne muddizibwa ebitundu byammwe ebyazika,
9 bnga mugamba abasibe nti, ‘Muveemu,’
n’abo abali mu kizikiza nti, ‘Mube n’eddembe!’

“Banaaliranga ku mabbali g’ekkubo,
ne ku ntikko z’obusozi bwonna obwereere banasangangako omuddo.
10 cTebaalumwenga njala newaakubadde ennyonta,
ebbugumu ly’omu ddungu teriibakwatenga newaakubadde omusana okubookya.
Oyo abakwatirwa ekisa alibakulembera,
anaabatwalanga awali enzizi z’amazzi.
11 dEra ndifuula ensozi zange zonna okuba amakubo
era enguudo zange ennene zirigulumizibwa.
12 eLaba, abantu bange balidda okuva ewala,
abamu, baliva mu bukiikakkono
n’abalala ebuvanjuba, n’abalala bave mu nsi ye Sinimu.”

13 fYogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi.
Muyimbe mmwe ensozi!
Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.

14Naye Sayuuni n’ayogera nti, “Mukama andese,
era Mukama wange anneerabidde.”

15 g“Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,
n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?
Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira
naye nze sirikwerabira.
16 hLaba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange;
ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.
17 iAbaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza
era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
18 jYimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe.
Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli.
Nga bwe ndi Katonda omulamu,
balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi
ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.

19 k“Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa,
kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo,
era abo abakuteganya
banaakubeeranga wala.
20 lAbantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse
lumu balyogera ng’owulira nti,
‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala;
tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 mN’olyoka oyogera mu mutima gwo nti,
‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna?
Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba.
Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka.
Bano baava ludda wa?
Nasigala nzekka,
naye ate bano, baava wa?’ ”
Copyright information for LugEEEE